Ekiramu bwe kiba nga kibonaabona, ebirowoozo ebiyamba bivaayo olw’ekiramu ekyo, era ekikolwa eky’okuyamba ekiramu ekyo okuva mu birowoozo ebyo eby’ekisa kwe kusaasira kw’obulamu. Ekikolwa ekyo kwe kusinza Katonda.
Ebiramu mu nsi bibonaabona olw’okubonaabona okw’engeri nnyingi. Okugeza: enjala, ennyonta, obulwadde, okwegomba, obwavu, okutya, n’okutta Okuyamba ebiramu okudda engulu okuva mu kubonaabona okwo kye kikolwa eky’okusaasira. Erinnya ly’okuyamba ebiramu ebirala mu ngeri eno kwe kusinza Katonda.